Okuva Katonda bw’agamba nti abo abamukkiririzaamu bajja kufuna Omwoyo Omutukuvu, abo abaagala okugufuna balina okukkiriza n’okugoberera enjigiriza za Katonda Yakuwa mu mulembe gwa Kitaffe, Yesu mu mulembe gw’Omwana, ne Kristo Ahnsahnghong nga ye ne Katonda Nnyaffe, abazze ng’Omwoyo n’Omugole, mu mulembe gw’Omwoyo Omutukuvu.
Abo abagondera ekigambo kya Katonda be bakkiririza ddala mu Katonda. Nga Nuuwa, Ibulayimu, Musa, Yoswa, ne Kalebu bwe baaweebwa omukisa olw’okugondera ekigambo kya Katonda, n’abantu ab’okukkiriza abakuuma olunaku lwa Ssabbiiti n’Okuyitako —ebigambo bya Katonda —bajja kuweebwa omukisa leero.
"Owa Katonda awulira ebigambo bya Katonda: mmwe kyemuva mulema okuwulira, kubanga temuli ba Katonda." Yokaana 8:47
Mukama anaakunywezanga okuba eggwanga ettukuvu eri ye, nga bwe yakulayirira; bw'onookwatanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo n'otambuliranga mu makubo ge. Awo amawanga gonna ag'oku nsi ganaalabanga ng'otuumiddwa erinnya lya Mukama; ne gakutyanga. Ekyamateeka Olwokubiri 28:9–10
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy